Okulonda ba ssentebe b’emiruka kukomekkerezeddwa okwetoloola eggwanga lyonna, era ng’akakiiko k’eby’okulonda The Electoral Commission of Uganda, kategeezezza nti okutwalira awamu okulonda okutegekeddwa olwa leero nga 10 August,2026 kutambudde bulungi
Ba ssentebe b’emiruka nga beba L.C 2 n’olukiiko lwe balondeddwa abakiise, abaalondebwa ku bukiiko bw’ebyalo nga 28 July,2026.
Okulonda kuno kubadde kwa ggwanga lyonna, era nga kutegekeddwa akakiiko k’eby’okulonda aka The Electoral Commission of Uganda.
Okusinziira ku nteekateeka y’obukulembeze bwebuyimiride mu Uganda, Omuluka gukolebwa byalo ebiriraanyiganye.
Olukiiko lw’omuluka lubeerako ba memba 7, okuli ssentebe, omumyuka wa ssentebe, Omuwandiisi, Ow’amawulire, Ow’eby’ensimbi,Ow’eby’okwerinda,n’ow’obutonde bw’ensi.
Abamu ku bantu abaali besimbyewo nebawangulwa ku nkiiko z’ebyalo, bavuganyizza ku miruk, abamu bawangudde abalala bazzeemu okugwa.
Omwogezi wa kakiiko ke byokulonda Julius Muchunguzi ategezeza cbs nti tebafunye kwemulugunya kungi kuva mu bavuganyizza, nga bwegwali ku kulonda ba ssentebe b’ebyalo.
Mucunguzi yebazizza abantu bonna abeetabye mu kulonda kuno, olw’okussa ekitiibwa mu mateeka g’eby’okulonda.
Obukiiko bw’emiruka bwebuvunaanyizibwa kukugaba ebintu ebiwebwayo government okukulaakualnya abantu, omuli sente z’Emyooga ne Parish Development Model.








