Omukwasi wa goolo munnauganda Tom Ikara mu butongole yegasse ku club ya AFC Leopards egucangira mu liigi ya babinywera eya Kenya, okubakwatira goolo okutandika ne season eno empya 2026/27.
Tom Ikara okugenda mu club ya AFC Leopards avudde mu club ya BUL eya Uganda Premier League.
Aguliddwa okudda mu bigere bya munnauganda omulala James Ssettuba ayavudde ku club eno, oluvanyuma lw’ebbanga lya mwaka gumu ng’abazannyira.
Tom Ikara era yazannyirako ne club ya Sidama Coffee eya Ethiopia ne KCCA eya Uganda Premier League.
Mu club ya AFC Leopards waliyo bannauganda abalala okuli Taddeo Lwanga eyakagendayo nga ava mu club ya Vipers eya Uganda ne Sam Ssenyonjo.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe









