Goolo eziwadde Mawogola obuwanguzi zitebeddwa Samuel Kayizzi ne Kinene William, era Samuel Kayizzi yalondeddwa ng’omuzannyi asiinze banne mu mupiira guno.
Mawogola kati egenze mu kifo eky’okubiri mu kibinja Muganzirwazza n’obubonero 12, Ssingo kati yakutaano n’obubonero 08.
Mu kibinja kye kimu Muganzirwazza, Kkooki erumbye Kabula omwayo e Lyantonde n’egikubirayo goolo 2-1.
Mu kibinja Bulange, Buddu esigadde tenakubwamu mu mpaka zino bwerumbye Buluuli omwayo mu kisaawe e Kakooge n’egikubirayo goolo 2-1.
Obed Ronald ne Yiga Steven be bateebye goolo za Buddu, nga kati Buddu ekulembedde ekibinja Bulange n’obubonero 17 ate Kyadondo yakubiri n’obubonero 11.
Kyadondo ekubye Buweekula goolo 2-1 mu kisaawe e Wampeewo.
Kyaggwe nayo ekubye Mawokota goolo 2-0, zitebeddwa David Mugalu ne Lubwama Lauben mu kisaawe e Mukono.
Gomba ekubye Bulemeezi goolo 1-0 eteebeddwa Alvin Kitiibwa mu kisaawe e Kabulasoke.
Kyaggwe ekulembedde ekibinja Masengere n’obubonero 16 ate Gomba yakubiri n’obubonero 12.
Bugerere yakubye Butambala goolo 2-1 e Butambala ate nga Buvuma yagudde maliri ne Busujju goolo 1-1 e Magyo.
Buli ssaza lisigazzaayo emipiira 3 okuggalawo omutendera gw’ebibinja.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe