Club ya Wakiso Giants egucangira mu liigi ya babinywera eya Uganda Premier League mu butongole erangiridde nti etadde omutendesi John Luyinda Ayala okunoonya ekibanja ewalala oluvanyuma lw’endagaano okugwako.
John Luyinda Ayala yegatta ku club ya Wakiso Giants mu 2022, wabula oluvanyuma lw’endagaano ye okugwako abakulu basazewo obutagyongezayo.
Steven Bengo y’amudidde mu bigere, era ku mulimu guno agenda kumyukibwa Tonny Mawejje.
John Luyinda Ayala ng’akyali muzannyi, yazannyirako club ya Kampala United, Villa Jogo Ssalongo ne KCCA.
Wabula era yaliko ng’omumyuka w’omutendesi Abdallah Mubiru ku club ya KCCA ne Police FC.
Bisakiddwa: Issah Kimbugwe