Government ya Uganda etaddewo obuwumbi bwa shs obusoba 350 okukola enguudo mu district ye Wakiso mu mu nteekateka y’okukulaakulanya Kampala n’emiriraano emanyiddwa nga Greater Kampala Metropolitan Area-GKMA mu ttundutundu erisooka ery’emyaka 5.
Enguudo zino ezigenda okusokerwako kuliko oluva e Bukasa.Ssentema-Kakiri oluwezaako kilomita ezisoba mu 12.
Naggalabi-Naasozi-Kitemu oluwezaako kilomita ezikunukiriza mu 7.
Gattako enguudo endala mu Nansana Municipality olwa Nansana-Wamala-Katooke-Jjinjakalooli oluwezaako kilomita ezisoba mu 8 n’endala.
Okusinziira ku Mayanja William nga y’avunaanyizibwa kukugula ebintu bya district-Procurement Officer, buli kumu kumpi kiwedde era akakasizza nti mu January wómwaka ogujja 2025, buli kimu kijja kuba kiwedde nga batandika kuzikola.
World bank yakakasa ensmbi ezikunukiriza mu buse 3 ( 560 Dollars ) zaaweerezebwa dda mu Uganda okukola enguudo eziwerako mu district ye Wakiso, Mpigi, Mukono ne Kampala mu nkola eya Greater Kampala Metropolitan Area-GKMA, ng’era basubira okutandika okuzikuba kolaasi mu January 2025.
Omubeezi w’akulira ebyemirimu nabakozi mu district, avunanyizibwa ku nteekateka eno eya GKMA, Ssalongo Kiwanuka Achilles, agambye nti balindirira kiva wa Solicitor General abaluηamye olwo emirimu jitandike nti kubanga nabagenda okuzikola baasunsuddwa.
Bisakiddwa: Kawuma Masembe