Club ya Villa Jogo Ssalongo etandise nakugwa maliri ga 0-0 ne club ya Al Merrikh Bentiu eya South Sudan mu mupiira gwayo ogusoose mu mpaka za Cecafa Kagame Cup eziyindira e Tanzania.
Empaka zino zatandise lunaku lw’eggulo mu kibuga Dar El Salaam, era Villa Jogo Ssalongo ekikiridde Uganda mu mpaka zino olw’okuwangula liigi ya babinywera season ewedde.
Mu mupiira oguzannyiddwa, omutendesi wa Villa Jogo Ssalongo Dusan Stonjanovic awadde abazannyi abapya omukisa okutandika omupiira guno okubadde Dennis Kaka Omony ne Najib Yiga.
Oluvanyuma lwa Villa Jogo Ssalongo okuzannya ne Al Merrikh Bentiu, eddako kuzannya ne APR eya Rwanda ate esembyeyo okuzannya ne Singida Black Stars eya Tanzania ku Sunday nga 14 July,2024.
Mu kibinja kye kimu C omuli Villa Jogo Ssalongo, omupiira omulala oguzannyiddwa, APR eya Rwanda omuzannyira munnayuganda Tadeo Lwanga ekubye Singida Black Stars goolo 1-0.
Mu bibinja ebirala, Al Wadi eya Sudan ekubye JKU eya Zanzibar goolo 1-0, ate nga Coastal Union eya Tanzania ekubye Dekedaha eya Somalia goolo 1-0.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe