Club ya Villa Jogo Ssalongo egucangira mu Uganda Premier League erangiridde Morley Byekwaso nga omutendesi ow’ekiseera owa club eno, oluvanyuma lw’omutendesi munnansi wa Serbia Dusan Stonjanovic okulemererwa.
Villa Jogo Ssalongo erangiridde Morley Byekwaso abadde omumyukawe.
Dusan Stonjanovic wagendedde nga yakamala okuwanguza Villa Jogo Ssalongo ekikopo kya liigi oluvanyuma lw’ebbanga lya myaka 20 nga tebakiwangula.
Dusan Stonjanovic wagendedde nga n’abazannyi abawerako baabulidde Villa, okuli eyali captain Kenneth Ssemakula, Umar Lutalo, Joseph Kafumbe, Gavin Kizito nabalala.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe