UPDF ekoledde akabaga akaaniriza abaali abayeekera ba LRA abawera 75 ababadde bekukumye mu bibira bye Central African Republic okumala emyaka 17.
Abayeekera bano abaali bakulirwa Joseph Kony oluvannyuma lwamukama wabwe okuggulwako emisango mu kooti y’ensi yonna nga waliwo n’ebigambibwa nti yandiba nga yafa, baasalawo okusaba ekisonyiwo era nebasaba okudda ku butaka.
Ekibinja ky’abayeekera ekyakakomezebwawo ky’abantu 75, ekyasembeyo okutuuka kyabaddemu 16, abaaniriziddwa eyaliko omubaka we Yumbe Huda Oleru.
Yabasuubizza nti bagenda kubudaabudibwa n’oluvannyuma babatabaganye n’enganda zabwe.
Bakusooka kubudamizibwa mu bitundu bye Mijeera
Bonna awamu abewaddeyo okuva mu bibira mu Central African Republic bali 75 era bonna betabye ku kabaga akabaaniriza okudda ewaka.
Akabaga kano kabadde ku Peneil Beach e Ntebe.
Ekibinja ky’abayeekera ekyasooka okudda kyalimu abantu 69 ekyakulemberwa munansiko Achai Doctor, ekirala kyabaddemu 16 ekyakulembedwa Faustino olango Langalanga abadde kuddala erya Major mu buyeekera wamu nabenganda zabamu ku bayekera bano.
Omudumizi w’eggye lya UPDF mu bubaka bwe obusomeddwa Lt Gen Charles Otema Awanyi awadde essuubi ababadde abayeekera eryobutasagaasagana nga bakomyewo mu Uganda, era nti UPDF ng’eri wamu nebitongole ebirala bakubayambako nbatuule ntende mu bitundu gye baaberanga.
Ababaka ba Parliamenti abava mu bitundu bye Acholi,wamu nabenganda z’abantu bano basinzidde ku kabaga kano nebasiima omulimo ogukoleddwa ogw’okubasangula amaziga , nti kubanga abantu babwe baali baababulako nga nabasinga baali baana bato webaabulira nga baali baawambibwabuwambibwa.
Minister avunanyizibwa ku nzonga z’obukiika kkono bwa Uganda Grace Kwiyucwiny abasabye okusikiriza ne bannabwe abalala abatanasalawo okudda okwaboobwe.
Bisakiddwa: Kakooza George William