Eggye ly’eggwanga erya UPDF litandise okuzimbira abasirikale balyo ennyumba ez’omulembe, okudibya obuyumba obwakazibwako erya maama yingiya pole.
Mu nteekateeka eno ennyumba ezisoba mu mutwalo omulamba zezisuubirwa okuzimbibwa.
Enteekateeka eno etandikidde ku kuzimba ekizimbe okuli office z’ekitebe ky’eggye lino , ennyumba z’abasirikale abakulu wamu ne sweeta mwebalongooseza abalwadde ku ddwaliro eriri mu nkambi y’ekibinja ky’amagye agokuttaka ekisooka e Kakiri mu district ye wakiso.
Amyuka omuduumizi w’eggye eryokuttaka Maj. Gen Francis Takirwa agambye nti bagala amagyr nago gafune ku ssanyu nga gabeera n’ebyensula ebirungi.
Takirwa era atenderezza ekitongole ky’amagye ekizimba ekya UPDF Engineering Brigade olwokukola obulungi emirimu egyibawebwa awatali kwekiriranya.
Omwogezi w’ekibinja ky’amagye agokuttaka ekisooka Major Charles Kabona agambye nti sweeta ezimbiddwa nayo yakuyamba okwongera okutumbula eby’obulamu bw’abasirikale, n’abantu ba bulijjo abagendayo..
Bisakiddwa: Tonny Ngabo