Obululu bw’empaka za Pepsi University Football League season ya 2023 bukwatiddwa, University 24 zezikakasiddwa okuzetabamu.
Empaka zitandika nga 7 march,2023.
University zino zeyongeddeko obungi okuva ku University 22 ezetaba mu mpaka ezasembayo, nga ku mulundi guno kweyongeddeko ISBAT University ne Kampala International University.
Empaka zino zigenda kubeera za mulundi gwa 11 nga zitegekebwa okuva lwe zatandika mu 2012.
Ttiimu zonna 24 zisengekeddwa mu bibinja 6 nga buli kibinja kiteereddwamu ttiimu 4.
President wa Association of Uganda University Sports, Peninah Kabenge, yakulembeddemu omukolo gw’okukwata obululu buno e Lugogo mu Kampala.
Kabenge agambye nti empaka zino zeyongedde amaanyi, nga batandika ne University 6 zokka, kyokka nga werutukidde olwaleero nga bawezeza University 24 okwetoloola Uganda.
Bannantameggwa b’empaka ezasembayo aba Uganda Martyrs University batereddwa mu kibinja A ne Kabale University, Bugema University ne University of Kisubi.
Ekibinja B muteredwamu IUIU, MUBS, Victoria University ne YMCA.
Ekibinja C mulimu Muni University, Kyambogo University, Makerere University, ne Ndejje University.
Ekibinja D mulimu Kumi University, Busitema University, KIU ne UCU
Ekibinja E mulimu Gulu University, St. Lawrence, IUEA ne Nkumba University
Ekibinja F mulimu Mbarara University, Kampala university, Bishop Stuart university ne ISBAT University.
Bisakiddwa: Issah Kimbugwe