Ministry y’ebyenjigiriza ekakasizza nti yakufulumya ebyava mu bibuuzo by’abayizi abaatuula ebya S.4 mu 2024, enkya ku Tuesday nga 11 February,2024, kisobozese abayizi okweyongerayo neemisomo gyabwe nga bukyali.
Abayizi emitwalo 36 6,620 beebaatuula ebigezo byabwe ebyakamalirizo ku mutendera gwa S.4.
Ebibuuzo bino byatuulibwa mu miteeko 2 okwali abakola omuteeko ogw’ebigezo mu curriculum empya, naabatuula ebigezo mu curriculum enkadde, era nga gwemulundi ogwasembyeyo eri abayizi okukola ebigezo mu curriculum enkadde.
Abayizi abeewandiisa okubituula emitwalo 186,212 balenzi ate emitwalo 193,408 baali bawala.
Abayizi omutwalo gumu mu 143 bebatuula ebibuuzo mu curriculum enkadde.
Ekiwandiiko ekifulumiziddwa ekitongole kya UNEB kiraze nti ebibuuzo byakufulumizibwa ekya ku Tuesday, era minister weebyenjigiriza n’emizanyo era mukyala w’omukulembeze w’eggwanga yagenda okubifulumiza mu maka gobwa president ku saawa ttaano ezokumakya.
Bisakiddwa: Ddungu Davis