Ekitongole ky’ebigezo mu ggwanga ekya Uganda National Examinations Board kifulumizza ebyava mu bibuuzo by’akamalirizo eby’ekibiina kya P.7 eby’omwaka oguwedde 2022.
Abayizi 801,810 bayise era bakkirizibwa okweyongerayo ku mutendera gwa Secondary oba mu matendekero ag’ebyemikono, so nga 97, 109 bagudde n’enkoona n’enywa era tebakkirizibwa kweyongerayo mpozzi okuddamu ekibiina ekyo.
Abayizi 114,617 bayitidde mu ddaala erisooka, 367,799 mu ddaala ery’okubiri, 146,583 mu ddaala ery’okusatu, ate 95,702 bayitidde mu ddaala eryokuna.
Abayizi bano baatuula ebibuuzo byabwe eby’akamalirizo nga 8 ne 9 November 2022 .
Abayizi 583,768 baali ba UPE songa abayizi 248,982 baali mu masomero ga bwannannyini.
Ssaabawandiisi wa UNEB Dan Odong bwabadde awaayo ebyava mu bibuuzo ku mukolo ogubadde mu maka g’obwapresident e Nakasero, agambye nti abayizi abalenzi baakoze bulungi okusinga ku bawala, wadde abawala ate baaleebeezza nnyo mu ssomo ly’olungereza.
Ku bayizi abeewandiisa okutuula ebibuuzo by’omwaka oguwedde, kwaliko abasibe 68, wabula 63 bebaatuula nga kirowoozebwa, nti abataano baayimbulwa ng’obudde bwebigezo tebunnatuuka.
Abasibe 5 bayitidde mu ddaala erisooka, 32 mu ddaala eryokubiri, 9 mu ddaala eryokusatu, 7 mu ddaala eryokuna ate omu yagudde.
Mu ngeri yeemu Dan Odongo, agambye nti abayizi 2,436 bebeewandiisa nga baliko obulemu obwenjawulo omuli bamuzibe, bakiggala n’abalala.
Dan Odong agambye nti okutwalira awamu ku mulundi guno, abayizi baakoze bulungiko okusinga ku mwaka gwa 2021, wadde waaliwo okusoomoozebwa kw’obulwadde bwa Ebola mu district okuli Mubende, Kassanda ne Kampala.
Ssentebe wa UNEB Prof. Mary Okwakol agambye nti ekitongole tekyasanga buzibu bungi mu kuteekateeka, okukola n’okugolola ebibuuzo bino, wabula waliwo abantu abatonotono abeenyigira mu kubbirira ebigezo era bonna baakwatibwa bagenda kuvunaanibwa mu tteeka eppya.
Prof. Okwakol agambye nti bano bonna, bweginaabakka mu vvi baakusibwa emyaka 5 okuva ku myezi omukaaga egibadde mu tteeka ekkadde.
Okwakol awanjagidde minister w’ebyenjigiriza Jenet Kataha Museveni nti beetaaga okwongezebwa ku nsimbi eziweebwa ekitongole okuteekerateekera abayizi ba UPE, nti kubanga buli mwaka beeyongera kyokka government teyongeza ssente kati emyaka 12 bali ku nsimbi zeezimu.
Minister w’ebyenjigiriza Jenat Kataha Museveni naye ku lwa government akinogaanyizza nti amasomero ga governmrnt tegalina kusolooza nsimbi zonna kubanga government ebyetaago byago byonna ebikolako.
Mu ngeri yeemu Museveni asabye n’amasomero g’obwannannyini obutayongeza bisale byamasomero, nti biremesa abaana okusoma bangi nebawanduka.
Museveni alangiridde nti okusunsula abaanayingira S.1 kwakubaawo nga 2 ne 3 February,2023 olwo abayizi batandike okusoma mu butongole nga 20 February 2023.
Bisakiddwa: Kamulegeya Achieo K.