Government ya Uganda ewaddeyo okwenyonyolako kwayo eri ekibiina ky’amawanga amagatte ki United Nations olw’etteeka Uganda lyeyayisa eriwera obufumbo n’omukwano gw’abantu ab’ekikula ekimu.
Government egambye nti etteeka lino lyayisibwa okutaasa abaana b’eggwanga lino abaali beeyongedde okuyingizibwa mu muzze gwebikolwa by’obusiyazi.
Uganda bweyayisa etteeka lino ,yavumirirwa nnyo government z’abazungu okuli Canada,Bungereza ,America nendala kwossa ekibiina ky’amawanga amagatte ,omukago gwa Bulaaya n’ebirala.
Okwenyonyolako kwa Uganda ku tteeka ly’ebisiyaga ,kwettikiddwa Arthur Kafeero omumyuuka w’omukiise wa Uganda owenkalakkalira mu United Nations.
Kafeero yeyakulembeddemu ttiimu y’abakungu ba government ya Uganda ,abeetabye mu nsisinkano y’akakiiko kekibiina ky’amawanga amagatte akalezi k’eddembe ly’obuntu.
Entuula zaako zibadde mu kibuga Geneva ekya Switzerland.
Abakungu ba government ya Uganda basiddwaako akazitto banyonyole ku tteeka lino,lyebagambye nti lityoboola eddembe lyobuntu.
Arthur Kafeero akanyonyodde nti government ya Uganda yakola okunoonyereza n’ekizuula nti ebisiyaga byali bitumbuddwa nnyo mu baana abato naddala mu massomero ,kwekubaga etteeka lino okutaasa abaana abato.
Ategeezezza nti tewali muntu yenna agenda kukwatibwa tteeka lino olwekyo kyaali, wabula ebikolwa bye byebiggya okusinziirwako etteeka lino okumukwata.
Ku nsonga y’eddembe ly’obuntu mu Uganda ,omukungu Arthur Kafeero abuulidde ekibiina kyamawanga amagatte nti government ya Uganda ewa bannansi eddembe lyabwe nga bwerirambikiddwa mu ssemateeka w’eggwanga.
Anokoddeyo eddembe ly’okwogera, eddembe ly’okulaga obutali bumattivu nebirala, naagamba nti ebifulumira mu mikutu egyenjawulo nti government erinyirira eddembe lyobuntu biffu SSI bituufu.
Arthur Kafeero kulwa governmnent ya Uganda era abuulidde United Nations nti nebyokulonda Uganda nti byalongookera ddala olw’amateeka gebyokulonda agazze gakolebwamu ennongosereza.
Mu ngeri yeemu United Nations etenderezza Uganda olw’enteekateeka eziteereddwawo okutereeza embeera y’abasibe mu makomera ga Uganda#