Government ya Uganda ng’eyita mu ministry y’ensonga z’amawanga amalala ebuulidde parliament nti terina kakwate konna, wadde enkolagana yonna n’obubinja bw’abayeekera obusuza government ya Democratic RepUbulic of Congo (DRC) nga teyebase.
Minister omubeezi ow’ensonga z’amawanga amalala John Mulimba asinzidde mu parliament gy’abadde agenze okunnyonyola ku bya Uganda weyimiridde ku nsonga zobutali butebenkevu obuli mu ggwanga lya DRC, naagamba nti Uganda emyaka gyonna eze yetaba mu nteekateeka ezizaawo emirembe mu ggwanga lya DRC.
Oluvanyuma lw’akabinja k’abayeekera ba M23 okuwamba ekitundu kye Goma, abekalakaasi baazinzeeko ebitebe by’amawanga amalala nebonoona ebintu ebiwerako okwabadde n’okubiteekera omuliro, okwabadde nekya Uganda.
Minister John Mulimba ku lwa government ya Uganda avumiridde ebikolwa by’okulumba ekitebe kya Uganda naagamba nti kino kityoboboola endagaano y’amawanga eya Vienna Convention ey’omwaka 1961.
Okusinziira ku minister John Mulimba, abakozi ba Uganda bonna ku kitebe ekyo tewali yakoseddwa, naagamba nti ekitebe kya Uganda kyanuunuddwa okuva mu mikono gy’abeekalakaasi, era nti government ya DRC yayogerezeganyizaako neya Uganda neewa obweyamo bw’okunyweza ebyokwerinda ku kitebe kino.
Wabula Mulimba agambye nti government ekimanyi bulungi obutakaanya mu kitundu kya Great Lakes Region kikafuuwe okubumalawo neryanyi lyemmundu.
Minister Mulimba agambye nti Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni Tibuhaburwa ne government ya Uganda netegefu nnyo okwenyigira mu nteeseganya ezokumalawo obutakaanya.#