Police mu Kampala n’emiriraano ekutte omukuumi wa kampuni y’obwannanyini ku bigambibwa nti yanyaze ku mukama we obukadde bw’ensimbi za Uganda 79.
Akwatiddwa ye Ndamuwe Joseph abadde akolera kampuni y’obwananyini eya Detailed Security esangibwa mu bitundu bye Wampeewo.
Kigambibwa nti ku lunaku lw’abagalana olwa Valentine nga 14 February,2025, omukuumi ono, omwagalwa we yamusabye ebimuli n’ensimbi kyokka nga tazirina, kwekufundiriza mukama we ku semadduka we bizimbisibwa gy’abadde akuuma eya Mukadwe Hardware e Wampeewo, n’amussa ku mudumu gw’emmundu naamubbako obukadde bwa shs 79.
Omwogezi wa police mu Kampala n’emiriraano Luke Oweyesigire agambye nti Ndamuwe Joseph emmundu gyeyalina yalimu amasasi 2, era olwamala okunyaga ensimbi naagisuula awo nadduka.
Oweyesigire agambye nti webamukwatidde bamusaanze n’ezimu ku nsimbi, era nga mu kaseera kano akuumibwa ku police ye Kasanngati mu district ye Wakiso.