Munnamaggye eyagannyuka Col.Dr.Kiiza Besigye awerennemba n’emisango gy’okusangibwa n’emmundu saako n’okukuma omuliro mu bantu, embeeraye yeraliikirizza abantu, era nga nabamu balabiddwako ng’amaziga gabayitamu mu kooti.
Besigye aleeteddwa mu kooti ya Buganda Road ku misango gy’okukuma omuliro mu bantu, wabula mu mbeera etali ya bulijjo abadde mugonvu nga tasobola kuyimirira.
Besigye yatanula okwekalakaasa mu kkomera e Luzira naazira emmere, ng’awakanya eky’okusibwa mu kkomera ebbanga eddene nga tamanyi kiddako.
Omulamuzi Winnie Nankya owa Kkooti ya Buganda Road ataddewo olwa nga 20 February, 2025, lwanaaweerako ennamula ya kkooti ku musango gw’okukuma omuliro mu bantu ogwaggulwa ku Dr. Kizza Besigye ne munne Samuel Walter Lubega Mukaaku.
Besigye azziddwayo mu kkomera e Luzira ku misango gy’okusangibwa n’emmundu mu ggwanga lya Kenya, saako okusekeeterera government ya Uganda, egyanuggulwako kooti y’amagye.
Wabula gyebuvuddeko kooti ensukkulumu yalamula nti kooti y’amagye teteekeddwa kuwozesa bantu ba bulijjo ekyaleka, Besigye n’abalala abaali bawozesebwa mu kooti eyo obutamanya kiddako, era ekikyabakuumidde mu kkomera.#