Olukiiko lw’Abalabirizi mu kkanisa ya Uganda olwa House of Bishops lulonze era nerukakasa Rev Canon Gaster Nsereko, okuba omulabirizi ow’omusanvu ow’obulabirizi bwa West Buganda.
Bamulondedde mu lukiiko olutudde ku Acaki Hotel mu district ye Kitgum mu bulabirizi bwe Kitgum.
Can.Gaster Nsereko agenda kutuuzibwa nga 30 March,2025, ng’adda mu bigere by’Omulabirizi Henry Katumba Tamale, agenda okuwummula.
Sadiik Adam, ayogerera ekitebe kyekkanisa ya Uganda, agambye nti Rev Canon Gaster Nsereko waakutuuzibwa ku bukulu buno nga 30 March,2025 ku lutikko ya St Paul e Kako mu district ye Masaka mu bulabirizibwa West Buganda.
Rev. Canon. Gaster Nsereko yazaalibwa nga 5 July, 1965 ku kyalo Bbira Naakuwadde mu ssaza lye Busiro mu district ye Wakiso
Yayatula obulokozi nga 30 May,1993 e Namukozi mu bulabirizi bwe Mityana.
Yayawulibwa nga 9 December, 1989 ku St Andrew’s Cathedral e Namukozi Mityana.
Yafuuka omwawulire omujjuvu nga 10 December, 1990 mu lutikko yeemu e Mityana.
Nga 17 January, 2010 Rev.Gaster Nsereko yafuna obwa Canon ku lutikko ya St Paul e Kako mu West Buganda.
Musajja mufumbo ne maama Sarah Nsereko era balina abaana 3.
Muyigirize alina degree mu by’eddiini gyeyafunira mu Uganda Christian University, ne Diploma mu busomesa bwa primary gyeyafunira mu Institute of Teacher Education Kyambogo, n’obuyigirize obulala.
Waatukidde okulondebwa nga yaabadde ssabadiikoni we Kakoma era Vicar wa lutikko ya St John’s Kakoma Church of Uganda, mu bulabirizi bwa West Buganda.
Yawerezaako nga Provost wa lutikko ya St Paul e Kako, yakolako nga Omumyuka wa dean amanyiddwa nga Subdean, yaliko ssabadiikoni wa Masaka Archdeaconry nebifo ebirala ebyenjawulo mu bulabirizi bwe bumu.
Bisakiddwa: Ddungu Davis