Olwa leero Lunaku lw’Abaagalana (Valentine’s Day).
Mu Buganda, Kabaka Jjuuko ye yasooka okulaga mukyala we, Nalunga, Owenvuma, omukwano mu lujjudde. Nalunga naye yayagala nnyo Jjuuko era yamugoyezanga amayuuni, ng’ekkwano limuli bubi, mu ngeri y’okumulagayo “eky’enjawulo”.
Kabaka Jjuuko yakulembera Obuganda wakati w’omwaka 1670-1682.
Be twagala (abaana; ababeezi; abenganda; abeemikwano) tubalage omukwano.
Omutuukirivu Valentino yali Faaza mu Klezia e Roma eyabudaabudanga abasibe abaabanga bayigganyizibwa olw’okugaana okubeera abajaasi. Yattibwa 14 February 273 AD).
Biwanuddwa: ku kibanja kya Owek.Charles Peter Mayiga ku mukutu ogwa X