Munnansi wa Kenya,Raila Omoro Odinga awanguddwa akalulu kookuuvuganya ku ntebe y’omukulembeze w’akakiiko akaddukanya emirimu mu mukago ogutaba amawanga ga Africa ogwa African Union Commission.
Abamulembeze b’amawanga ga Africa bali mu kibuga Addis Ababa ekya Ethiopia, gyebagenze okwetaba mu lukungaana lw’omukago gwa ssemazinga Africa ogwa Africa Union olw’omulundi ogwa 38.
Mu lukuηaana luno mwebalondedde abakulembeze abookuntikko mu kakiiko akafuzi ak’olukungaana lw’omukago gwa African Union aka African Union commission.
Ebiifo bibiri byebibaddeko vvaawo mpitewo okuli ekya ssentebbe w’akakiiko n’omumyuuka we.
Ekifo kya ssentebbe waakakiiko embiranye ebadde wakati wa munna Kenya,Raila Omoro Odinga, ava mu mukago gwa East Africa Community ogukolebwa amawanga okuli Uganda, Kenya, Tanzania, Rwanda, Burundi, Somalia, DR Congo ne South Sudan.
Abalala kubaddeko Mohamoud Ali Youssouf munnansi wa Djibouti ne munnansi wa Madagascar, Richard James Randriamandrato.
Gyebigweredde nga munnansi wa Djibouti Mohamoud Ali Youssouf, yawangudde akalulu ngakunganyizza obululu 33, sso nga munnansi wa Kenya, Mzei Raila Odinga akutte kyakubiri oluvanyuma lw’okuvuganya mu bululu bwa mirundi 7.
Mohammed Youssouf awangudde Odinga mu bululu obwemirundi 4 era Raila Odinga naalangirira nti ye awanduse mu nteekateeka eno.
Raila Odinga atalaaze amawanga ga Africa 21 era ngaatembeetebwa nnyo president wa Kenya, William Ruto.
Odinga yasoose kufuna obululu 20, mu luvuganya olwokubiri, olwousatu, olwokuna n’olwokutaano gyebitabukidde.
Raila Odinga obululu bwe bwatandise okukendeera okuva 20 oluvanyuma lwa Mahamoud okuwangula akalulu mu round eyokubiri ng’alina obululu 23, Ricahrd Randriamandrato ngalinawo 5
MU round eyokuna Youssouf yafunye 25, Raila 21 akalulu akamu nekafa ssonga 2 baaganye okulonda omuntu yenna.
Mu Round ey’okutaano Raila yafunye obululu 21, Youssouf naafuna 26 nga tewali bwayonoonese, sso ng’era abalonzi 2 baaganye okulonda, kyokka round eyoomukaaga yeemaze eggobe mu kibya Raila bwafunyeyo obululu 22 ate Youssouf naafuna obululu 26, era wano Odinga waawandukidde.
Amawulire galaze nti Raila Odinga asanze akaseera akazibu naddala okufuna obuwagizi okuva mu mawanga agaliraanye Kenya okuli Uganda, Burundi ne Tanzania.
Mu kiseera kino, munnansi wa Chad, Moussa Faki Mahamat, yaabadde ssentebe w’akakiiko kano owoomukaaga okuva mu mwaka 2017 era yawangulira ku bululu 38.
Ekisanja kya ssentebe kibeera kyamyaka 4, wabula nga kizzibwa obuggya emyaka emirala 4.
President wa Angola, João Manuel Gonçalves Lourenço, alondeddwa nga ssentebe w’omukago gwa African Union okumala ebbanga lya mwaka gumu.
President qa Mauritius, Mohamed Ould Cheikh Mohamed Ahmed Ould Ghazouani amazeeko ekisanja kye.
Obukulembeze bwa African Union bukyukakyuka buli luvanyuma lwa mwaka, nga butambuzibwa mu bakulembeze b’amawanga g’omukago.
Bikuηaanyiziddwa: Ddungu Davis