District ye Wakiso attadde omuk ono ku ndaagano ne kkampuni ya China eyitibwa CHONGQING INTERNATIONAL CONSTRUCTION CORPORATION Cico okukola oluguudo lwe Ssentema -Bukasa – Kakiri olumaze eBbanga lukaabya bannauganda abalukozesa olwenfuufu eyittirIddde
Project eno yakuwementa obuwumbi bwa shilling obusoba mu 66 munteekateeka evujjurirwa banka yensi yonna .
Akulira abakozi mu district ye Wakiso Alfred Malinga asinziridde ku kitebe kya district nawanjagidde government ya Uganda okubataasa ku kizibu ky’emirimu okutambula akasoobo, nti ng’ettambwe eva wa Solister General okulwawo okuyisa project mubudde, ekiviriddeko emirimu gya district okwesiba NGA mukadde Kano batubidde nobuwumbi obusoba mu bubbiri KU account
Minister omubeezi wa Kampala Joseph Kabuye kyofatogabye contructor amuwadde omwezi gumu okutandiika omulimu guno, nga bwetunaatuukira mu December 2025 nga waliwo ekituukiddwako
Minister kyofatogabye mungeri yeemu akkiriza nti wakyaliwo embeera yokutambuza emirimu akasoobo mu office ya Solister General olw’ebisibu ebiteebeereka, nti naye ensonga eno bagende kugikolako mubwangu ddala .
Amyuka ssentebe wa district ye Wakiso Bettina Nantege asabye abatuuze oluguudo gyerugenda okuyita okwaniriza enkulakulana eno
Bisakiddwa: Tonny Ngabo