Abantu 5 bebaakafa mu district ye Lamwo , nga bano bateeberezebwa okubeera n’Akakwate ku kubba Ekkutiya z’Entungo 19 ne Pikipiki eby’Omutuuze Anthony Mmwa asangibwa ku kyalo Alimotiko ekiri mu gombolola ye Labigiryang.
Abagenzi okuli Kenneth Lukoya, Opira Simon, Ouma Volon, Kaguta Denis, n’omuntu Omulala atannamanyika mannya, ate abalala 8 bali mu mbeera mbi ddala.
Nga 5 December, 2024 kigambibwa nti abantu abataaamanyika baamenya Sitoowa ya Anthony Mmwa, esangibwa mu Kabuga ke Ogiri nebabba ensawo z’Entungo 19 ne Pikipiki, oluvannyuma nebabulawo.
Anthony Mmwa yaddukira ku police ye Ogili naloopa Omusango kyokka police netabaako gwekwata.
Oluvannyuma lwa Mmwa okwetawula ku police ye Ogili nga terina bekwata, yategeeza nti agenda kweyiggira bonna ababadde n’ekkobaane mu kumubba, nabasuubiza nti mu bbanga ttono waakuleeta Omusawo w’ekinnansi Okuva e Gulu emuyambeko.
Nga 11 February,2025 Mwa yaddukira eri Ssentebe w’Ekyaalo namusaba ategeeze abatuuze nti aleeta Omusawo ,okwali n’Okulabula buli eyali mu kkobaane ly’okumubba.
Okuva nga 12 February,2025 n’okutuusa leero abantu abenjawulo baagumba ku Sitoowa Obubbi buno webwakolebwa nga balaajana, nga bwebasaba basonyiyibwe.
Police ng’eyita mu amyuka Omwogezi waayo mu district ye Lamwo Kwebiiha Sarapio ,ekakasizza nti ddala abantu 5 baafudde,era n’emirambo egimu giweereddwa ab’eηanda baziike.
Anthony Mmwa akwatiddwa police naggalirwa, ng’okunoonyereza ku bubbi bw’entungo n’okufa kw’abantu abataano bwekugenda mu maaso.
Bisakiddwa: Kato Denis