Ekibiina ekitaba bannamateeka mu ggwanga ki Uganda Law Society kiwandiikidde ekitongole ky’amakomera nga kyagala kalonda yenna akwata ku basibe abaasindiikibwa mu makomera agenjawulo okuva mu kkooti y’amagye
Mu bbaluwa eyawandiikiddwa akolanga avunaanyizibwa ku ntambuza y’emirimu mu kibiina ki Uganda law society Christine Awol,eri ssenkulu w’ekitingole ky’amakomera mu ggwanga Dr Johnson Byabashaija,Uganda Law society kyagala kalonda akwata ku basibe abasingisibwa emisango mu kkooti y’amagye,naabo abakyawozesebwa mu kkooti y’amagye
Uganda Law society era eyagala kalonda akwata ku misango egibavunaanibwa n’emisango egyo wegituuse , bannamateeka balabe ekyokukolera abasibe bano.
Kooti ensukkulumu yalambise nti kkooti z’amagye tezirina buyinza kuvunaana bantu babulijjo era zibadde zikikola mu bumenyi bw’amateeka ebbanga eriyise.#