Ekibiina ekitaba bannamateeka mu ggwanga ki Uganda Law society kitaddewo ttiimu 3 ezabannamateeka okwetegereza ensonga ezetoolerera ku musango government gwevunaana Rtd. Col Dr Kiiza Besigye mu kkooti y’amagye nakaleega bikya aketoolerera ku musango guno.
Omusango guno gwaviiriddeko Ssentebe wa Kooti eno Brig General Robert Freeman Mugabe okusindika munnamateeka wa Besigye, nga ye Eron Kiiza mu kkomera e Kitalya okumala ebbanga lyamyezi 9, olwokunyomoola kkooti eyo.
President wa Uganda Law society Isaac Ssemakadde alangiridde nti ttiimu yabannamateeka eteereddwaeo, ekutuddwamu ebibinja bisatu okuli ekigenda okukyalira Munnamateeka Eron Kiiza okubaako byebawayaamu naye nga kwekuli nokusala amagezi ku ngeri gyava mu kkomera bwekiba kisobose.
Ekibinja kyabannamateeka ekirala kigenda kusisinkana bannamateeka okuli Martha Karua ne Ssaalongo Elias Lukwago,bannamateeka ba Col. Dr. Kiiza Besigye nabo okubaako byebawayaamu ku nsonga zino eziri kkooti y’amagye
Isaac Ssemakadde agambye nti ekibinja ekirala kigenda kusisinkana Ssaabalamuzi wa Uganda Alphonse Owinyi Ddolo okumanya omusango oguli mu kkooti ensukulumu ogwa Michael Kabaziguruka mwawakanyiza ekyokuvunaanira abantu mu kooti y’amagye wegutuuse.
Okusinziira ku Ssemakadde, alipoota enaava mu bannamateeka abo, Uganda Law society kwegenda okusinziira okusalawo kyekizaako.#