Ttiimu y’eggwanga ey’omupiira ogw’ebigere eyabazannyi abatasussa myaka 20 eya Uganda Hippos, yesozze omutendera gwa quarterfinals mu mpaka za Africa Cup of Nations U20.
Empaka zino ziyindira Misiri, era nga Uganda okuyitawo ekulembedde ekibinja B n’obubonero 5.
Okwesogga quarterfinals esoose kugwa maliri ga 0-0 ne South Sudan mu mupiira gwayo ogusembyeyo mu kibinja.
Akalulu bwekatyo Uganda Hippos kajisudde ku Nigeria gyegenda okuzannya nayo ku mutendera gwa quarterfinal.
Bisakiddwa: Issah Kimbugwe