Abaddusi ku mutendera gw’ensi yonna bannauganda Joshua Cheptegei ne munne Stephen Kisa, bataka mu kibuga Tokyo ekya Japan.
Bagenze okuvuganya mu misinde mubuna byalo egya Tokyo Marathon 2025.
Emisinde gigenda kubeerawo ku Sunday nga 02 March,2025 ku makya.
era Joshua Cheptegei agenda kudduka embiro ekika kino omulundi gwe ogw’okubiri.
Joshua Cheptegei yasooka okuvuganya mu misinde gya marathon mu 2023, nga ku olwo yagiddukira essaawa 2:08:59 mu Valencia.
Joshua Cheptegei okusinga ettuttumu yalifunira mu misinde emiimpiko okuli egya mita 5000 ne 10,000, wabula kati yasalawo obwanga abwolekeze emisinde mubuna byalo (Marathon).
Stephen Kisa yalina record y’eggwanga ey’emisinde gya marathon ya ssaawa 2:04:48 gye yatekawo mu 2022 mu Hamburg Germany.
Wabula bano bajja mu misinde gino, nga munnabwe Jacob Kiplimo yakamala okutekawo record empya mu misinde gya kilo mita 21 egya Half Marathon egyaali mu kibuga Barcelona e Spain.
Emisinde gino Jacob Kiplimo yagiddukira eddikika 56 ne seconds 38 omwezi guno ogwa February,2025.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe