Bya Issah Kimbugwe
Ttiimu yéggwanga eyómuzannyo gwa Rugby eya Uganda Rugby Sevens etandise nabuwanguzi mu mpaka za Africa Rugby Men’s Sevens ezitandise leero.
Uganda ewuttudde Burundi obugoba 71 – 00.
Empaka zino ziyindidde mu kisaawe kya Kyadondo Rugby Grounds mu Kampala.
Abazannyi okubadde Phillip Wokorach, Micheal Wokorach, Timothy Kisiga, Adrian Kasito nabalala booleseza omutindo omusukkulumu.
Mu mizannyo emirala, Kenya ekubye Senegal obugoba 19 – 00.
Burkina Faso ekubye Zimbabwe obugoba 14 – 12.
Madagascar ekubye Botswana obugoba 52 – 00.
Namibia ekubye Ghana obugoba 17 – 10.
Cameroon ekubye Zambia obugoba 33 – 07.
Tunisia ekubye Mauritius obugoba 14 – 00.
Emizannyo gino gibadde gya luzannya olusooka.