
Ekibiina ekiddukanya omuzannyo gw’emisinde mu Uganda ekya Uganda Athletics Federation, kikakasizza ttiimu y’abaddusi 17, egenda okukiikirira Uganda mu mpaka za African Senior Athletics Championships ez’omwaka guno 2022.
Empaka zigenda kubeerawo okuva nga 8 okutuuka nga 12 omwezi guno ogwa June e Mauritius.
Zigenda kubeera za mulundi gwa 22 nga zitegekebwa, zatandika mu 1979 mu Dakar Senegal.
Ttiimu ya Uganda eriko abaddusi abakazi 7, n’abasajja bali 10.
Abakyala kuliko;
- Jacent Nyamuhunge – 100m, 200m, 400m
- Leni Shida – 400m
- Aciru Knight – 1500m
- Janat Chemusto – 1500m, 5000m
- Sarah Chelangat – 5000m, 10,000m
- Chebet Rachael Zena – 10,000m
- Josephine Lalam – akasuka nnyago (javelin)
Abaami;
1.Benson Okot – 100m, 200m
- Pius Adome – 100m, 200m
- Adoli Heron – 400m
- Chanwengo Godfrey -400m
- Osuje Emmanuel -800m
- Dradiga Tom – 800m
- Mayanja Abu – 1500m
- Otim Emmanuel -1500m
- Chemutai Ezekiel – 3000m steeple chase
- Chebures Ali -5000m, 10,000m
Empaka zino zibadde zasemba kutegekebwa mu 2018 mu Asaba Nigeria. Kenya yeyasinga okuwangula emidaali emingi mu mpaka ezo.
Bukyanga empaka zino zitandika Uganda yakawangula emidaali 35 okuli egya zaaabu 6, feeza 13 n’egyekikomo 16.
Bisakiddwa: Issah Kimbugwe