Akakiiko k’eggwanga ak’ebyokulonda aka Uganda Electoral Commission keeraliikirivu nti olwa government ne parliament okulwawo okubaga n’okuyisa amateeka agagenda okulungamya ebyokulonda mu kalulu k’omwaka ogujja 2026.
Enteekateeka z’akalulu kano zitandika n’okuwandiisa abalonzi nga 20 January,2025.
Ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda Omulamuzi Simon Mugenyi Byabakama agambye nti baalambika ensonga zebaagala ng’akakiiko zikyuuke mu mateeka g’ebyokulonda nebazisindika eri ministry ebatwala eya ssemateeka n’essiga eddamuzi, zanjulibwe mu parliament wabula babuli kati tebawulirayo kanyego, kyokka obudde buweddeyo.
Abamu kwabo aboolekedde obuteetaba mu kulonda kw’omwaka ogujja olw’amateeka obutakyusibwa bebasibe abali mu makomera , wadde kkooti ensukulumu yalagira akakiiko kebyokulonda kakole ku nteekateeka ezabasibe nabo okulonda.
Byabakama agambye nti amateeka agaliwo tegakkiriza kuteeka bifo bironderwamu mu makomera, kale nga bwegaba tegakyuuse ssi bakulonda.
Ebyo nga bikyali awo, wabaluseewo okusoberwa mu kakiiko kano olw’ensimbi ezikaweebwa okusalibwa mu mbalirira y’omwaka gw’ebyensimbi ogujja 2025/2026, era guno gwegugenda okubaamu okulonda
Ensimbi zino zaasaliddwa okuva ku buwumbi 555 okudda ku buwumbi 140
Omulamuzi Simon Mugenyi Byabakama agambye nti saawa yonna bagenda kugenda mu parliament okutangaaza ku nsonga eno.
Kammissona wa parliament Owek Mathias Mpuuga Nsamba naye aliko ennoongosereza mu mateeka g’ebyokulonda zeyabaga, zaagamba nti singa ziyisibwa, Uganda yaakufuna akalulu akaliko yadde yaddeko, wabula tanaweebwa lukusa okwanjula ennoongosereza zino mu parliament wadde yawandiikira sipiika ng’asaba olukusa luno.
Ennoongosereza za government mu mateeka agafuga ebyokulonda tezimanyiddwa wezituuse, era CBS egezezaako okunoonya abakulu mu ministry ya ssemateeka n’essiga eddamuzi okubaako kyebatangaaza wabula tebanafunika.#