Abantu 10 bebasunsuddwa okuvuganya ku kifo ky’obubaka bwa Parliament owa Kawempe North,mu kusunsula okumaze enaku biri nga kuyindira e Kawempe.
Mu basunsudwa kwekuli Luyimbaaza Nalukoola owa NUP, Mukiibi Sadat wa FDC, Faridah Nambi wa NRM, Nsereko Moses azze bwannamunigina ,Hanifa Karadi azze bwannamunigina,Musiitwa Ismail wa PPP, Mutazindwa Muhamood azze bwannamunigina, Henry Kasacca wa Dp ne Lusswa Luwemba Muhammad atalina kibiina kwajidde.
Wabula wakati mukulangirira bano nti bebasunsudwa akakiiko ke byokulonda kafunye ebbaluwa okuva ewa Mukasa Jacob Kasana atalina kibiina kwajidde, nga asaba akakiiko kamuwandukulule olw’okulumbibwa abazigu mu kiro ewuwe nti nebamukuba nnyo era nti abadde taddusiddwa mu ddwaliro.
Wasswa Samson yaleese ebaluwa eno eri akakiiko ke byokulonda era nga ono ategezeza nti waliwo abavubuka ababalumbye nebabakuba nebanyaga ne sente zabwe n’ebintu ebirala.
Wabadeyo katemba ku kakiiko ke byokulonda omuvubuka Damulira Hamza owe myaka 23 ,bwaze kukakiiko ke byokulonda okumusunsula ,bwebamusabye obukadde 3 obw’okwewandiisa nategeeza akakiiko nti ye takwatangako na kukkadde ka sente akalmba, nti wabula ng’alina obusobozi obukiikirira KawempeNorth nti kubanga yasiinga okutegeera ensonga zaayo, wabula tebamukkirizza nebamugoba.
Cue in………………Tewali sente
Ate ye Mutazindwa Muhamood oluvanyuma lw’okusunsulwa akakiiko kano akakukulumidde nyo olw’okumulemesa okukozesa akabonero ka PFF nti nebamuwa akabonero ke gaali era ono agambye nti tamanyi oba akabonero kebamuwadde kanawangula akalulu.
Eyali Omubaka wa Kawempe North Muhammad Ssegiriinya yava mu bulamu bw’ensi nga wakyabulayo omwaka mulamba okulonda kwa bonna kubeewo.
Wano akakiiko k’eby’okulonda wekaasinziira nekategeka okuddamu okulondesa omubaka anaakiikirira ekitundu kino mu myezi ejisigaddeyo okutuuka ku kalulu ka January, 2026.
Okulonda kwa Kawempe North okwokujjuza ekifo ky’omubaka wa parliment kwakubaawo nga 13 March,2025.