Akakiiko kebyokulonda aka Uganda Electoral Commission nabebyokwerinda mu Gombolola ye Kawempe baweze bannabyabufuzi okuyisa ebivvulu ku nguudo, nga bagenda okwewandiisa okuvuganya ku kifo ly’omubaka wa Kawempe North nebwebanaaba bamalirizza.
Okwewandiisa kutandise leero nga 26 February,2025 n’olwenkya nga 27.
Enteekateeka eno eyindira ku kitebbe ky’akakiiko kebyokulonda ekisangibwa e Mpererwe okuliraana ekizimbe kya Akamwesi mall
Omwogezi w’akakiiko k’ebyokulonda Julius Mucunguzi agambye abagenda okwewandiisa balina okugenda ku kakiiko k’ebyokulonda n’abantu 2 bokka ababaseemba.
Ekifo kyomubaka wa Kawempe North Kyasigala nga kikalu oluvanyuma lweyali mu kifo kino Mohammed Ssegirinya eyali amanyiddwanga Mr Updates okufa mu January 2025.
Abaneewandiisa, bakuweebwa ennaku 12 zokka okunoonya akalulu.#