Uganda ekubye Senegal ggoolo 1 – 0 mu mpaka za CHAN eziyindira mu Algeria.
Goolo ya Uganda eteebeddwa Milton Kariisa mu ddakiika eya 33.
Omusambi wa Senegal Ousimane Diof alemereddwa penati ekwatiddwa Omukwasi wa goolo wa Uganda Cranes Alionzi Nafian, ekyongedde okuwa ttiimu obuwanguzi.
Uganda Cranes kati yekulembedde ekibinja B, mweri ne Senegal, DRC ne Ivory coast.#