Ttiimu y’eggwanga ey’omupiira ogw’ebigere eya Uganda Cranes esitudde olweggulo lwa leero egenze Tunisia ggyekubye enkambi.
Yetegekera empaka zakusunsulamu amawanga ezinakiika mu mpaka za Africa Cup of Nations ez’omwaka ogujja 2023 ezinabeera mu Ivory Coast.
Uganda Cranes enkambi eno egenda kugimalamu ennaku 4 n’oluvanyuma yakuyita buterevu okugenda mu Algeria gyegenda okuzannya nayo omupiira gwayo ogusooka.
Uganda Cranes mu mpaka zino eri mu kibinja F ne Algeria, Niger ne Tanzania era egenda kuggulawo ne Algeria nga 4 omwezi ogujja ogw’omukaaga.
Uganda Cranes bwenamaliriza Algeria ezaako Niger mu kisaawe kya St Mary’s e Kitende, nga 8 June 2022.
Omutendesi wa Uganda Cranes, Milutin Micho Sredojevic, yayita ttiimu yabazannyi 35 okwetegekera emipiira gino, wabula attutte ttiimu yabazannyi 16.
Abana basigadde mu nkambi okuli Denis Otim,Aliro Moses,Mato Rogers ne Yiga Nagib.
Abazannyi 8 abazannyira emitala wa mayanja bbo bakwegatta ku ttiimu ng’etuuse e Tunisia.
Uganda Cranes erwana okuddamu okukiika mu mpaka zino, ezaaseembyeyo ezaali e Cameroon zaagisuba.
Abazannyi 16 abagenze kuliko Marvin Youngman Joseph, Lukwago Charles, Nafian Alionzi, Kizito Mugweri Gavin, Lwaliwa Halid, Muleme Isaac, Walusimbi Enoch, Musa Ramathan, Jagason Muhammad Shaban,Byaruhanga Bobosi, Karisa Milton, Kizza Martin, Miya Faruku, Okwi Emmanuel, Begisa James Penz ne Fahad Bayo.
Abasuubira okubegatta e Tunisia kuliko Abdu Aziz Kayondo, Elvis Bwomono, Bevis Mugabi, Allan Okello, Allan Kyambadde, Aucho Khalid, Derrick Kakooza ne Steven Serwadda.
Bisakiddwa:Issah Kimbugwe
Ebifaananyi: Bya Fufa