Ttiimu y’eggwanga ey’omupiira ogw’ebigere eya Uganda Cranes eraze amaanyi mu mpaka za Africa Cup of Nations qualifiers bw’ekubye Congo Brazaville goolo 2-0.
Mu mupiira ogubaddeko n’obugombe mu kisaawe e Namboole, goolo za Uganda Cup zitebeddwa Azizi Kayondo mu dakiika eya 21 ne Jude Ssemugabi mu dakiika eye 85.
Kakaano Uganda Cranes kati ekulembedde ekibinja K n’obubonero 4 ate Congo Brazaville esigadde mu kifo kyakubiri n’obubonero 3, South Africa yakusatu nakabonero 1 ate nga South Sudan esembye terinaayo kabonero.
Omutendesi wa Uganda Cranes, Paul Joseph Put, azanyisizza abazannyi okubadde omukwasi wa goolo Ismael Watenga, captain Khalid Aucho, Ronald Ssekiganda, Kenneth Ssemakula, Bevis Mugabi, Rogers Khassim Mato nabalala.
Uganda Cranes yasoose kugwa maliri ne South Africa ku friday nga 06 September,2024 ga goolo 2-2 e South Africa.
Uganda Cranes kati ya kukomawo mu kisaawe nga 07 October,2024 okuzannya ne South Sudan mu kisaawe e Namboole.
Uganda Cranes erwana okukiika mu mpaka za Africa Cup of Nations ezigenda okubeera e Morocco omwaka ogujja 2025.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe