Club ya Express FC mukwano gwabangi ewangudde omupiira ogusookedde ddala n’omutendesi waayo omugya James Odoch,ekubye club ya Police goolo 2-1 mu kisaawe e Wankulukuku.
Omuzannyi Tonny Mawejje yasoose okuteebera Police goolo.
Oluvannyuma abazannyi okubadde George Ssenkaaba ne goolo yakyeteeba ey’omuzannyi Goerge Kiryowa nebafunira Express obuwanguzi.
Express okuva lwe yagoba omutendesi Wasswa Bbosa ebadde tenafunayo buwanguzi,nga batendekebwa omutendesi omugya James Odoch.
Gyebuvuddeko Villa Jogo yagiwandudde ne mu mpaka za Uganda Cup.
Omupiira omulala club ya UPDF erumbye Gaddafi omwayo e Jinja n’egikubirayo goolo 3-1, mu kiseera nga UPDF ebadde ewezezza emipiira 13 nga tefuna buwanguzi mu liigi.
Ebyo nga biri bityo, ttiimu y’eggwanga eya Uganda Cranes ekubiddwa Uzbekistan goolo 4-2,mu luzannya olwakamalirizo olw’empaka za Navruz Cup ezibadde ziyindira mu Uzbekistan.
Goolo za Uganda Cranes zokka ebbiri ziteebeddwa abazannyi Farouk Miya ne Emmanuel Okwi.
Empaka zino Uganda yazigendamu okwetegekera empaka za Africa Cup of Nations qualifiers ne Chan qualifiers.