Ekibiina ekiddukanya omupiira mu Uganda ekya FUFA, kikakasizza ekisaawe kya St.Mary’s Kitende okukozesebwa tiimu y’eggwanga eya Uganda Cranes, ng’esamba emipiira gyayo egy’okusunsulamu amawanga aganaakiika mu mpaka za Africa Cup of Nations.
Empaka zino zakubaawo omwaka ogujja mu Ivory Coast.
Uganda Cranes mu mpaka zino yatekeddwa mu kibinja F.
Ekibinja kino kirimu Uganda, Algeria, Niger ne Tanzania.
Uganda cranes egenda kuggulawo ng’ekyalira Algeria nga 4th June,2022.
Olwo yakuzaako okukyaza Niger mu kisaawe kya St.Mary’s Kitende, era omwezi ogujja nga 8th June.
Uganda Cranes emipiira gyayo egiyise ebadde egikyaliza mu kisaawe kye Namboole, wabula mu kiseera kino kikyadaabirizibwa okuddamu okutukana n’omutindo ogulagibwa FIFA ne CAF.
Ekisaawe kya St Mary’s Kitende era Uganda Uganda ekikozesezza mu mpaka za Afcon qualifiers ne World Cup qualifiers ezisembeyo.