Kampuni enkozi y’amatoffaali n’obuggyo (Ebikozesebwa mu kuzimba) eya Uganda Clays Ltd etuuse ku nzikiriziganya nékittvvu kyábakozi ekya NSSF okukisasula ebbanja lyekibanja lya buwumbi 20.6 mu bbanga lya myaka 5 okuva mu 2025.
Ssenkulu wa kampuni ya Uganda Clays Ltd Rueben Tumwebaze agambye nti baali bewola obuwumbi bwa shs 11 mu mwaka gwa 2010 okutandika ekkolero lya Kamonkooli mu district ye Mbale, nga lyali lyakusasulwa mu myezi 96.
Wabula kampuni yafunamu okusomoozebwa neremererwa okusasulamu bbanga eryo, ebbanja nerigenda nga likula okutuuka ku buwumbi bwa shs 20.6.
Mu ttabamiruka wábalina emigabo mu kampuni eno atudde ku Sheraton hotel mu Kampala, Rueben Tumwebaze annyonyodde nti kampuni yatuuse ku nzikiriziganya ne NSSF babongereyo akadde akadde akasasula ensimbi ezo mu bbanga lya myaka 5, nga buli luvannyuma lwa myezi 6 bakubangako ekitundu ku nsimbi ezo kyebasasula.
Mu ngeri yeemu Uganda Clays Ltd eyongedde okunywera mu katale, mu butongole erangiridde nti mu mwaka gw’ebyensimbi oguweddeko nga 30 June 2023, bafunye amagoba ga nsimbi obuwumbi bubiri n’obukadde bina (2.4bn)
Ebirangiriddwa biraga nti kati mu myaka egiddiringana kkampuni eno eyongera kukula ekissa akamwenyumwenyu ku bagirinamu emigabo.
Abagirina balangiridde nti abalinamu emigabo, werunaatukira nga 20 July,2023, banaaba baafunye dda akavangata kaabwe ak’amagoba.
Ssentebe wa Kampuni ya Uganda Clays Ltd Eng. Martin Kasekende, agambye nti newankubadde enkola ya Business mu Uganda n’ensi yonna okutwalira awamu ebadde tetambula bulungi olw’ensonga ezenjawulo, Uganda Clays Ltd erwanye masajja okusomoka era n’ekola n’amagoba agazzaamu amaanyi.
Agambye nti amagoba gano agóbuwumbi 2.4 zigenda okugabanyizibwako eri bannyini migabo, nga buli mugabo gwakufuna ebitundu 0.5.
Ssenkulu wa kampuni eno Rueben Tumwebaze agambye nti mu bbanga lya myaka mitonotono egiyise basoomoozeddwa nnyo olw’embeera y’obutabanguko mu mawanga ga Bulaaya n’ekirwadde kya Covid 19, ekyaviirako okuggala akatale mu China, naye bakoze kyonna okukakasa nga bakungula amagoba agasanyusa.
Bisakiddwa: Betty Zziwa ne Kamulegeya Achileo K