Ennyonyi y’eggwanga eya Uganda Airlines esiimbudde ku kisaawe Entebbe ku ssaawa ssatu n’eddakiika 25 ez’okumakya ga nga 18 May,2025 ku lugendo lwayo olusoose okwolekera a London, era ng’etuseeyo ku ssaawa nga kkumi n’eddakiika 55.
Bannamawulire bebamu ku bafunye omukisa okutaambulira mu nnyonyi ya Uganda Airlines okwolekera Bungereza.
Ennyonyi eno etuukidde ku kisaawe kye Gatwick Airport mu kibuga london ekya Bungereza.
Ssenkulu wa Uganda Airlines Janefer Bamuturaki agambye nti engendo z’e Bungereza zigenda kubayamba okwongera okusitula ensuubulagana wakati w’amawanga gombi, eby’obulambuzi n’enkolagana endala mu nsonga endala.
Uganda ebadde emaze emyaka egisoba mu 10, nga tewali nnyonyi egenda butereevu okuva Entebbe okugenda e Bungereka, okuva British Airways lweyayimiriza eηηendo zaayo mu 2014.