Kampuni y’ennyonyi eya Uganda Airlines etongozza amawanga amalala 3 ennyonyi zaayo gyezigenda okugwa obutereevu okuva ku kisaawe Entebbe, nga kino kikoleddwa okwongera okutumbula eby’obusuubuzi n’obulambuzi.
Engendo ezitongozeddwa kuliko oluva e Ntebbe okugenda mu Kibuga Abuja enkya Nigeria, okuva e Ntebbe okugenda mu Kibuga Harare ekya Zimbabwe n’okuva e Ntebbe okugenda mu Kibuga Lusaka ekya Zambia.
Enyonyi za Uganda okuva e Ntebbe okugenda mu Kibuga Abuja kwakutandika nga 12 September,2024, songa okuva e Ntebbe okugenda e Harare ne Lusaka kwakutandika nga 25 September,2024.
Bwabadde alangirira entekateeka eno mu Kampala, ssenkulu wa Uganda Airlines Jenifer Bamuturaki ategeezezza nti kati Ennyonyi za Uganda ziwezezza amawanga 16 mwezikolera.
Bamuturaki agambye nti basuubira ebyenfuna bya Uganda Airlines okwongera okulinnya n’ebitundu 10% oluvannyuma lwokutongoza engendo zino 3, saako ebyobusuubuzi n’Obulambuzi mu Uganda nabyo byakwongera okulinnya.
Bisakiddwa: Kato Denis