Kampuni y’ennyonyi eya Uganda Airlines kyaddaki ekiriziddwa ekitongole ekitwala ebyennyonyi mu Bungereza okubuuza ennyonyi zaayo okuva ku kisaawe ky’ennyonyi e Entebbe okutuuka e Bungereza buterevu, oluvanyuma lwebanga ng’esaba okuwebwa omukisa.
Wiiki ewedde senkulu wa Uganda Airlines Jenifer Bamutulaki n’abakungu mu kitongole ekitwala eby’ennyonyi mu Bungereza lwebaasisinkanye nekigendererwa ekyokulungamya ebirina okugobererwa mu ngendo z’ennyonyi zabwe.
Kampuni ya Uganda Airlines ebadde emazze akabanga nga yasayo okusaba okukkirizibwa okutwala abantu mu ggwanga lya Bungereza, okutuuka lwebaatuuse kunzikiriziganya.
Senkulu wa Uganda Airlines Jenffer Bamutulaki agamba nti kino kyakwongera okusitula omutindo gwa Uganda Airlines n’okwongera okwanguyiza abantu naddala abasuubuzi ababadde batwala eby’amaguzi mu Bungereza okuva e Uganda.
Olugendo lwe Bungereza lugenda kuba lwegase kungendo endala Uganda airlines gyetwala abantu okuli Somali, South Africa, Burundi, Nigeria, India,Dubai, Mombasa ,Tanzania n’endala.