Ekitongole ekivunaanyizibwa ku kulondoola n’okutumbula omutindo gw’emmwanyi mu ggwanga ekya Uganda Coffee Development Authority, (UCDA), kitandise okubaga ku nteekateeka y’okuwandiisa abalimi b’emmwanyi okwetoloola eggwanga lyonna ng’omu ku kawefube w’okulondoola abalimi n’okubayambako okutumbula omutindo gwebyo byebakola.
Mu lutuula olw’enjawulo abakwatibwako eby’emmwanyi olubadde ku Hotel Africa mu Kampala, basazeewo nti basaanidde okwongera okubangula abalimi ba Uganda ku nteekateeka y’okwewandiisa n’omutindo ogwetaagisa, Uganda bweba yaakuyingira mu katale kaamawanga ga Bulaaya okunogayo ensimbi ezegasa.
Robert Nangatsa, avunanyizibwa ku by’okusomesa abalimi b’emmwanyi mu kitongole kya Uganda Coffee Development Authority, (UCDA), agamba nti abalimi baakubangulwa mu nkozesa y’ettaka, n’obukwakulizo obulala obuyinza okuviirako eby’amaguzi bya Uganda okugaanibwa e Bulaaya.
Simon Emong, okuva mu kakiiko ka Uganda akavunanyizibwa ku kukwasisa amateeka ku by’amaguzi ebisuubuzibwa mu mawanga ga Bulaaya aka National European Union’s Deforestation Regulation Task Force, agambye nti baliko amateeka gebaabaze agalina okugobererwa abalimi mu Uganda, okwewala okufiirizibwa.
Omukago gwa Bulaaya gwayisa etteeka erigenderera okutaasa obutonde bw’ensi nga likugira abasaanyaawo ebibira “The European Union Deforestation Regulation”(EUDR) nga likwata ku buli muntu yenna ali mu mulimu gw’eby’obulimi, omuli abalimi bennyini, abasuubula ebirime okubitwala mu mawanga amalala n’eby’obulimi byonna okutwalira awamu.
Mu tteeka lino omulimi tasaanidde kutema miti oba ebibira n’ekigendererwa eky’okulimirirawo, era singa kikolebwa ebirime ebyo byabeera alimidde ku ttaka eryo okwatemwa ebibira oba okulundirako tebikkirizibwa kutundikwa mu katale k’amawanga ga Bulaaya.
Ebirime bino kuliko emmwanyi, cocoa,ebikajjo,soya, ennyama n’ebirala ebiva mu nte, embaawo,ebinazi n’ebirala.
Mu nteekateeka eno abalimi b’ebirime ebitundibwa n’ebitsuubirwa okutundibwa mu mawanga ga Bulaaya, balina okuwandiisibwa, ettaka kwebalimira enkula yalyo emanyibwe nebiriko, okukakasa nti tebityoboola butonde bwansi.#