Ttiimu y’essaza Buddu eraze amaanyi mu mpaka z’amasaza ga Buganda ez’omupiira ogw’ebigere ku mutendera gwa quarter final, erumbye Kabula omwayo n’egikubirayo goolo 2-0.
Omupiira guno guzannyiddwa mu kisaawe e Bakijjulula Lyantonde.
Goolo eziwadde Buddu obuwanguzi ziteebeddwa abazannyi Akram Katende ne Mike Walaga.
Mungeri yeemu Buweekula erumbye Mawokota omwayo mu kisaawe e Buwama n’egikubirayo goolo 1-0 eteebeddwa Aniku Fahad.
Kyadondo ekubye Busujju goolo 1-0 ku kisaawe kya Bethen City.
Kyaggwe ekubye Ssingo goolo 1-0 mu kisaawe kya Bishops e Mukono.
Ttiimu zonna zigenda kuddingana ku Sunday ejja nga 29 September,2024 okufunako ttiimu 4 ezigenda ku semifinal.
Ssentebe w’olukiiko oluteekateeka empaka zino, Hajji Sulaiman Ssejjengo, agambye nti emipiira gyonna gitambudde bulungi, kyokka nti buli ttiimu ekyalina omukisa okuyitawo.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe