Ttabamiruka w’ekibiina kya FDC ekiwayi kya Katonga road atudde, okusalawo kyebazaako oluvannyuma lw’okutalaaga eggwanga nga bebuuza ku bannakibiina.
Ku byebalina okusalawo kwe kuli oba nga batandikawo ekibiina oba ekisinde ky’ebyobufuzi oba okusigala mu FDC eyawamu.
FDC yagwamu nnabe mu 2023 ku bigambibwa nti government ya NRM yali ekipokera ensimbi n’ebigendererwa ebyali tebimanyiddwa.
Embeera eno yaviirako FDC okwekutulamu ebiwayi bibiri ekya Katonga ne Najjanankumbi era ebiwayi bino tebirima kambugu.
Ekiwayi kye Katonga road kyagenderamu ba memba abalumiriza NRM okupokera FDC omusimbi, okuli eyali president wa FDC Rtd Col.Dr.Kiiza Besigye, ssentebe Waswa Biriggwa, Mayor wa Kampala Ssalongo Erias Lukwago, omubaka wa Kira municipality Ibrahim Ssemujju Nganda n’abalala.
Balumiriza ekiwayi kye Najjanankumbi ekikulirwa president wa FDC Patrick Amuriat Obbo ne Ssaabawandiisi Nathan Nandala Mafaabi okukuta n’ekibiina kya NRM.
Kigambibwa nti NRM yeyavugirira Amuriat ensimbi okuvuganya ku bwa president mu kalulu ka 2021, n’ekigendererwa eky’okukendeeza ku bululu bwa president wa NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu.
Ekiwayi kye Najjanankumbi kyaatuuza dda Ttabamiruka wakyo mwekyakyusiza n’obukulembeze, era ekye Katonga nekitakkaanya nabyakolebwa nebasalawo okwekutula ,era nebalondawo n’obukulembeze bwabwe obw’ekiseera obukulemberwa Ssalongo Erias Lukwago.
Abe Katonga batandiika okutalaaga eggwanga nga bebuuza ku banna kibiina kino ku kyebalina okuzaako,era ng’ebyaava mukwebuuza byebagenda okusnziirako balangirire ekiddako.
Kigambibwa nti waliwo n’enteekateeka ezikulembeddwamu Dr. Kiiza Besigye ne Amb.Wasswa Biriggwa okwogereza ebibiina ebimu okukola nabyo omukago, era ekimu ku bitunuuliddwa kye kibiina kya Conservative Party.
Ssabawandiisi w’ekibiina kya FDC e Katonga Harold Kaija ategezeza CBS nti Ttabamiruka atandise era ng’abadde akolanga omukulembeze wa FDC okumala emyezi 6 Ssalongo Erias Lukwago, yagenda kusomera eggwanga kyebagya mu banna kibiina kino,n’oluvanyuma balangirire ekkubo lyebakutte mu by’obufuzi bya Uganda.
Bisakiddwa: Sharif Lukenge