Omuzannyi wa ttiimu y’eggwanga ey’omupiira ogw’ebigere eya Uganda Cranes, Travis Mutyaba, yegasse ku club ya Bodo egucangira mu liigi y’ekibinja eky’okuna mu Bufalansa.
Travis Mutyaba okugenda e Bufalansa, abadde yakasazaamu endagaano ye ne club ya Zamalek eya Misiri mu mwezi gwa August 2024.
Yali yegatta ku Zamalek ku ndagaano ya myaka 4, kyokka yasalawo okuva mu club eno n’agenda e Bulaaya.
Club ya Bodo ekkirizza okumuwa endagaano ya myaka 2.
Travis Mutyaba yava mu club ya Villa Jogo Ssalongo okugenda e Misiri, nga kakaano agenze Bufalansa.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe