Ekitabo kino “The man of many Firsts” kiwandiikiddwa nga kikwata ku bulamu bwa munamateeka Owek. John.W Katende owa Katende, Ssempebwa and Company Advocates.
Ekitabo kino akitongolezza ku Aristoc Booklex mu Kampala.
Ssaabasajja Ronald Muwenda Mutebi II yasiima n’awandiika ennyanjula yakyo “Foreword”.
Ekitabo kyogera ku bumalirivu n’obunyiikivu bwebiyinza okutuusa omuntu yenna ku kiruubirirwa kye.
Omukolo gw’okutongoza ekitabo kino gwetabyeko, Omulangira Rev. Dan Kajumba ayogedde ku Owek. Katende ng’amanyiddwa ensi yonna olw’obuvumu bwalaga mu buli nsonga gyeyenyigiramu, okutuusa ng’agiggusizza.
Gwetabyeko ne Ssaabalamuzi eyawummula Bart Magunda Katureebe n’ab’ebitiibwa abalala.
Bart Magunda Katureebe atenderezza munamateeka Owek John Katende, nti ng’ayitira mu Kampuni ye eyabanamateeka eya Katende, Ssempebwa and Company Advocates, mu mwaka gwa 2005 bagenda mu court nga bawakananya ekya bannauganda abaziza emisango gyanaggomola okuwanikibwa butereevu ku kalabba ewatali kusooka kuwulirizibwa.
Bisakiddwa: Musisi John