Ekibiina ekiddukanya omuzannyo gw’ensero mu Uganda ekya FUBA, kirangiridde ttiimu yabazannyi 13 eyabakazi eya The Gazelles, okutandika okutendekebwa okwetegekera empaka za Africa eza FIBA Women’s Afro Basket Championships eza 2025.
Ku ttiimu eyitiddwa kwe kuli ne Evelyn Nakiyingi owa club ya JKL Lady Dolphins, abadde aludde okulabikira ku ttiimu eno okuva lwe yasemba okuzannya mu mpaka zino ezaali e Kigali mu 2023.
Abazannyi abalala ye captain Jane Asinde, Jamirah Nansikombi, Hope Akello, Shakirah Nanvubya, Tracy Namugosa, Perus Nyamwenge, Paige Robinson, Claire Lamunu nabalala.
Uganda Gazelles mu mpaka za FIBA Women’s Afro Basket Championships eri mu kibinja C ne Senegal ewamu ne Guinea.
Empaka zino zigenda kubeerawo okuva nga 26 July, okutuuka nga 3 omwezi August,2025 mu kibuga Abidjan mu Ivory Coast.
Ebibinja ebirala okuli ekibinja A mulimu abategesi aba Ivory Coast, Angola ne Egypt.
Ekibinja B mulimu Mali, Cameroon ne South Sudan.
, ate nga bannantameggwa b’empaka ezasembayo aba Nigeria bali mu kibinja D ne Rwanda ne Mozambique.
Uganda Gazelles okukiika mu mpaka zino yasooka kuwangula empaka ez’okusunsulamu eza Zone Five ezaali e Misiri, era Uganda Gazelles ku final yakuba abategesi aba Misiri obugoba 74 ku 63.
Uganda Gazelles egenda kukiika mu mpaka ezakamalirizo omulundi ogw’okuna, nga yasooka kukiika mu 1997, 2015 ne 2023, nga kakaano egenda kuvuganya mu mpaka za 2025.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe