Government ya Uganda eragidde abantu bonna abeesenza mu kibira kye Bugoma, bakyamuke mbagirawo era nerabula abaneesisiggiriza nti yakusindikiriza neeryanyi .
Abafuumuddwa mu kibira ekyo kuliko abasuubuzi ababadde basala embaawo, abasenze abaazimba okumpi n’ekibira, abalimi nabalunzi saako abookya amanda.
Ssabaminister wa Uganda Robinah Nabbanja yayisizza ekiragiro ekifumuula abantu abo mu kibiri ekyo.
Bugoma Forest kitudde ku bunene bwa yiika ezisoba mu mitwalo 10.
Nabbanja alambudde ekibira ekyo, ng’ali wamu ne minister w’ebyobulambuzi Col.Tom Butime ,abakulira ekitongole ky’ebisolo byomunsiko n’abakulembeze abalala.
Gyasinzidde era nakwaasa ekibira ekyo eri ministry y’ebyobulambuzi okuva ku ministry y’amazzi n’obutonde bw’ensi.

Ekibira kino ekye Bugoma kyatongozebwa ng’ekibira eky’enkizo mu mwaka gwa 1932 Uganda bweyali ekyali mu bukulembeze bw’abafuzi b’amatwale.
Mu mwaka 2003 government yakissa mu kitongole ekiddukakanya ebibira mu ggwanga ki National Forestry Authority yeeba ekivunaanyizibwako.
Wabula ekibira kino emyaka bwegigenze gitambula, atamanya ngamba okuli abantu babulijjo,abakulu mu government saako bannamaggye bagenze bakizingako okukoleramu emirimu egyenjawulo okuli okwokya Amanda, okusala embaawo, okulimiramu, okulunda n’ebirala.
Ku ntandiikwa y’omwaka guno 2026, omukulembeze wa Uganda Gen.Yoweri Kaguta Museveni Tibuhaburwa, yalagira ssabaminister Robinah Nabbanja akwate ekibira kino ekya Bugoma akiggye wansi wa ministry y’amazzi n’obutonde mu kitongole ki National Forestry Authority, akisse wansi wa ministry y’ebyobulambuzi mu kitongole kya ministry eno eky’ebisolo ki Uganda wild life Authority UWA.
Museveni era yalagira mutabani we nga ye mudduumizi w’amaggye g’eggwanga General Muhoozi Kainerugaba anoonyereze ku bannamaggye abenyigira mu kusaanyaawo ekibira kino.

Ssabaninister Nabbanja asinzidde mu kibira ekyo, naalagira bonna abalina byebakoleramu okukyamuka mbagirawo, era naalabula nti omuntu yenna aneesisigiriza, naalemera mu kibira kino kakumujjuutuka.
Government era akinogaanyizza nti Teri muntu yenna egenda kuliyirirwa kubanga ettaka kwebeesenza ttaka lyakibira.
Minister w’obulambuzi n’ebisolo by’omunsiko Col Tom Butime agambye nti omulimu gw’okukuuma ekibira kino n’okukirabirira ogubakwasiddwa bagenda kugukola bulungi.
Ekibira kino ekya Bugoma,ekisalagana ne districts okuli Kyenjojo, Hoima n’endala, Kati kifuuliddwa ekkuumiro ly’ebisolo erya Bugoma forest National Park.
Ekitongole ki Uganda Wild life Authority kati kyekikivunaanyizibwako tewakyali akkirizibwa kukisaalimbiramu okuggyako ng’otuukirizza obukwakkulizo bw’ekitongole ekikuuma ebisolo byomunsiko ki Uganda Wild Life Authority.
Bisakiddwa: Musisi John










