Taata w’amyuka akulira ebiweerezebwa ku mpewo za CBS emmanduso ku mukutu gwa 89.2 Martin Oscar Kintu, nga ye muzeeyi Kintu David aziikiddwa ku kyalo Wairama, Nabukalu zone mu district ye Iganga.
Okuziika kwetabyeko bannabitone bangi ddala,bannabyabufuzi,bannamawulire n’abantu abalala bangi ddala, wakati mu nkuba etonnye.
Omubaka wa Kalungu west Ssewungu Joseph Gonzaga asabye banna Uganda okuwereera abaana babwe baleme kulinda government nti yenebaweerera n’okubalabirira mu buli kimu basobole okubaggyamu omulamwa.
Agambye nti wabula kino era tekirina kweyibaaza bakulembeze,abalina okufaayo okulaba ng’abaana b’eggwanga basoma bulungi, mu masomero amalungi, ebyenjigiriza eby’omutindo,n’okubateerawo embeera ebasobozesa okufuna emirimu.
Meddie Nsereko yayanjudde obubaka bw’abakulira n’abakozi ba CBSFM, abasiimye emirimu emirungi Katonda gyeyasobozesa muzeeyi Kintu David okugunjula abaana, mu mbeera zonna era bakoze bingi ebigasizza eggwanga.
Rev. Patrick Kibatuli omwawule w’obusumba bwa Nakalama bwabadde akulembeddemu okusabira omwoyo gw’omugenzi, asekeredde abantu ab’emalamu n’ensi nebatuuka n’okutuntuza abalala nga beerabidde nti bonna ebibamalamu baakubirekawo.
Anokoddeyo abalyi b’enguzi,abatta bannabwe olw’ettaka,eby’obufuzi n’ebirala.
Martin Oscar Kintu asiimye omutima ogwa sseruganda ogulagiddwa n’abamukwatiddeko bukyanga kitaawe alwala, nategeeza nti kitaawe muzeeyi Kintu abadde amaze ebbanga ng’atawanyizibwa ekirwadde kya kkookolo.