Essomero lya St Mary’s Kitende lizeemu okweddiza ekikopo ky’empaka z’amasomero ga senior ez’omupiira ogw’ebigere eza National Championships, bw’ekubye St Henry’s College Kitovu goolo 1-0.
Empaka zino zibadde ziyindira ku ssomero lya Nyakasura SS e Fort Portal.
Goolo ewadde St Mary’s Kitende obuwanguzi eteebeddwa Habibu Oloya.
St Mary’s Kitende kati ewangudde empaka zino omulundi gwayo ogwe 11 n’esibagana ne Kibuli SS nabo abakakiwangula emirundi 11.
St Mary’s Kitende empaka zino yasooka kuziwangula mu 2004, 2006, 2007, 2008, 2011, 2012, 2013, 2015, 2019, 2022 ne 2023.
Allan Oyirwoth owa Amus College yasinze okucanga endiba, Abdulnoor Nsereko owa St Mary’s Kitende yasinze okuteeba goolo ennyingi 11, ate nga Kamya Shamuran owa Royal Giants Mityana yasinze okukwata eggoolo.
Amasomero 4 okuli St Mary’s Kitende, St Henry’s College Kitovu, Royal Giants Mityana ne Kibuli SS bebagenda okukiikirira Uganda mu mpaka za East Africa ezigenda okubeera e Rwanda mu mwezi gwa August omwaka guno 2023.
Bisakiddwa: Issah Kimbugwe