Ekyalo Mabanga ekisangibwa mu muluka gwe Kikondo mu gombolola ye Kiringente mu district ye Mpigi kiri mu kasattiro ,oluvanyuma lwa ssentebe w’ekyalo kino okugoba abakulembeze abalala ku lukiiko lw’abadde akulembera nabo abalumiriza obubbi.
Ismail Mukasa ssentebe w’ekyalo kino agobye omumyuka we ,omuwandiisi n’owebyokwerinda nga agamba nti bajingirira omukono gwe n’okumubbako stamp ye Kyalo.
Agamba nti ebiwandiiko bingi ki kyalo ebijingirire nti nga bano bebabikola, naasalawo abagobe ekyaalo kifune emirembe.
Yasalawo n’okuwaaba omusango ku police ye Mpigi ebanoonyerezeeko.
Ssentebe agamba okuva lwebaabongezaayo ekisanja kyabwe obubbi bususse mu bakulembeze b’olukiiko lwe nga takyayinza kubigumiikiriza.
Abagobeddwa okuli omuwandiisi w’ekyalo wilber Mmande, Omumyuka wa ssentebe Rose Nnansubuga n’ow’eby’okwerinda Tonny Mbaziira,bano bagamba nti tewali ayinza kubagoba ,nabo batandiise okukunganya emikono okuggyamu sentebe wabwe obwesige
Bino bijidde mu kiseera nga government ezze eyongezaayo okulondebwa kwaba ssentebe be byalo, emirundi giweze ebiri gyeyakabongezaayo olw’okubulwa ensimbi eziteekateeka akalulu k’okutegeka okubalonda ng’abantu basimba mu mugongo.
Bisakiddwa: Lukenge Sharif