Ssemugenyi Patrick yasitukidde mu mpaka za Bbingwa wama Bbingwa 2024, era yeewangulidde ettaka okuva mu Njovu Estates. Awangudde n’obubonero 42 awanduddemu Kawooya Shafic n’obubonero 33.
Abameganyi abalala ababbinkanye mu Bbingwa Masavu abadde ow’okuddamu ebibuuzo ebikwata ku by’emizannyo byonna, wano munda mu ggwanga n’ebweru, kubaddeko Kisakye Emmanuel, Liiki Michael, Sseruyange John, Ssekalongo Moses.
Bbingwa Masavu 2024 akayindidde mu Club Ambiance e Masaka.
Team KK bebawanguzi ba Bbingwa Extra 2024 era basitukidde mu bukadde bwa shilling 2 mu Club Ambiance e Masaka.
Abamegganyi aba Bbingwa Extra kubaddeko Team Pacquiao, Team Bbunga, Team Bagolozi ne Team KK abawangudde.
Emisana wasooseewo omupiira ogw’omukwano wakati w’abakozi ba CBS ne tiimu y’abasuubuzi b’e Masaka, ku kisaawe e Kasana mu Nyendo.
Wabaddeyo n’enteekateeka CBS ku Lubeyu, abakozi ba CBS nga bakulembeddwamu Dr.Kwefu ne Lady Titie, Ssendegeya Muamad, Kamoga Abduswabur n’abalala bwebatalaaze ekibuga Masaka nga babuuza ku bantu ekisanyudde ennyo abawuliriza ba CBS.
Bannamasaka bakubye CBS goolo 3-2.
Byonna ebyo oluwedde endongo nesindogoma mu club Ambiance, omubadde abayimbi abenjawulo nga babakuba omuziki.#
Ebifaananyi: MK Musa